Amawulire

Gwebalongoosa wuuzi zaasigala wabweru

Gwebalongoosa wuuzi zaasigala wabweru

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omukazi ow’emyaka 40 ali mu bulumbi obutagambika, oluvanyuma lwokulongosebwa wuuzi nezisigala wabweru ku lubuto.

Amidah Nabatanzi, nga mutuuze ku kyalo Bulimi mu gombolola ye Kyampisi mu Mukono North, yaakalongosebwa emirundi 3 mu myaka 7 ngatawanyizbwa bizimba mu lubuto, atenga mu mbeera yeemu yakola okubezaawo famile ye.

Maama ono, asabye obuyambi okuva mu bazira kisa, asobole okufuna obujanjabi obwenkomeredde nokusobola okubezaawo amaka ge.

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mukono mu palamenti Hanifah Nabukeera, kati atandise ku kawefube okukunga abantu ne bakulembeze banne mu NUP okuyamba Nabatanzi.

Omubaka ono era aliko obuyambi bweyatusizza ewomukyala ono.