Amawulire

Gwebagobye ku mulimu asse mukama we

Gwebagobye ku mulimu asse mukama we

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu district ye Kaliro eriko omusajja owemyaka 49, gwegalidde nga kigambibw anti yatemula mukama we.

Omukwate ye Damiano Robert Otim omutuuze ku kyalo Lugambo mu gomboloa ye Ikumbya mu district ye Luuka.

Ono kigambibw anti yakidde Aidah Gimbo gwabadde alundira ente, namutematema namutta.

Akulira ebyokunonyereza ku buzzi bwemisango e Kaliro David Agi agambye nti bino bibadde ku kyalo Butesa mu gombolola ye Kasokwe e Kaliro.

Kigambibwa nti omugenzi yamulumbye mu nnimiro gyeyamutidde, oluvanyuma lwokumugoba ku mulimu nga bamukwatidde mu district ye Kiryandongo.