Amawulire

Gwebafumita ekiti mu mbugo ayambiddwa

Ali Mivule

March 21st, 2013

No comments

gals

Omwana ow’emyaka omukaaga eyafumitibwa ekiti mu mbugo afunye obuyambi.

Nyina w’omwana ono omuto Madina Nanangwe yakwata ekiti n’akisindika mu bukyala bw’omwana ono n’amala nawaaba ku poliisi nga omwana bweyali asobezeddwaako.

Ab’eddwaliro ekkulu e Kamuli bakwataganye ne plan Uganda okuyamba omwana ono okufuna obujjanjabi n’okulabirira omwana okutuusa lwanawona

Bano basookedde ku kusasula emitwaalo 60 ezibadde zikola ku mwan aono noluvanyuma bakole ku by’okumulongoosa

Kisaliddwaawo nti era omwana ono ssiwakudda mu mikono gya nyina omuto nga kati nyina yagenda okumulabirira.

Akulira ekibiina kya Plan Uganda e Kamuli, Patrick Emukule wabula asabye poliisi nebitongole ebikuuma ddembe okulaba nti omukyala ow’omutima omubi ono abonerebwa