Amawulire

Ggoonya erumyeko omukazi omukono
Bya Abubaker Kirunda
Omukazi owemyaka 32 goonya emulumyeko omukono mu district ye Namayingo.
Kinta Atieno omutuuze ku mwalo gwe Mangoda mu gombolola ye Dolwe goonya emulumidde ku Nyanja Nalubaale, bwabadde agenze okukima amazzi.
Abauuze batubuliidde nti ono abadde wa mukisa obutafa, waddenga gwomukono goomnya egulidde.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi alabudde abatuuze okubeera abegendereza, nga gavumenti bwevaayo nentekateeka okumalwo ggoonya mu kitundu.