Amawulire

Gavumenti yeekyusizza ku bya beettingi
Bya Samuel ssebuliba.
Kyadaaki Government ezeemu nekyusa kyeyabadde esazeewio ku ky’okuggala company za zaala zonna mu gwanga, kakano bagamba baakuggala ezo zokka nga banyinizo bagwira.
Kinajukirwa nti minister omubeezi akola ku by’ensimbi David Bahati yategeeza nga president bweyabadde alagidde nti company zino zigobwe mu gwanga kubanga zitaataganya abavubuka nebava mu kukola.
Kati bwabadde ayogerako ne banamawulire minister Matia Kasaijja , agambye nti okusalawo kuno buli omu yakutegedde bubwe, wabula tekitegeeza nti company zonna mu gwanga zakuggalwa
Minister agamba nti kimazze okukasibwa nti company zona ez’abagwira tezigenda kuweebwa licence mpya, kyoka nga empya ezaagala okuyingira mu gwanga tezigenda kukirizibwa.