Amawulire

Gavumenti ewabuddwa ku kusoma kwabayizi ba S1

Gavumenti ewabuddwa ku kusoma kwabayizi ba S1

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Akakiiko ka palamenti akebyenjigiriza kasabye gavumenti nti eyimirize abayizi abatudde PLE, owomwaka 2020 babatandise omwaka ogujja.

Ssentebbe wakiiko kano, omubaka John Twesigye agambye nti kino kyekiyinza okukolebwa okusooka okuleka abayizi aali mu S1 okujifuluma bagende mu S2 kubanga class 2 tezijja kusoma kibiina kimu.

Twesigye nga ye mubaka wa Bunyaruguru ekisangibwa mu disitulikiti ye Rubirizi agambye nti olwengeri ssenyiga omukambwe gyeyakosaamu ebyenjigiriza abayizi basaanye kusomera mu mpalo.

Mu biralala asabye nti minisitule yebyobulamu ekolagane ne minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, okugema abasomesa bonna.

Mu biralala era awakanya okusoma kwokumitimnagano, okuyita ku TV, Radio nezzi Yintaneti.