Amawulire

Gavumenti eruddewo okwanja embalirira

Ali Mivule

April 3rd, 2017

No comments

 

 

Bya Moses Kyeyune

Obukiiko bwa palamenti obwenjawulo bunenyezza gavumenti olwokulwisa enteekateeka zokwanja embalirira y’eggwanga.

 

Okusinziira ku tteeka ly’ebyensimbi erizingiramu n’embalirira y’eggwanga erya 2015 likilambika nti embalirira eno yalina okwanjibwa nga 1 April terunatuuka okwongera okujikubaganyako ebirowoozo.

 

Wabula enteekateeka zonna zitambula mungeri yakasoobo nga era sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga azzenga anenya gavumenti obutaleeta mateeka gegasa okukugabanyako ebirowoozo.

 

Ababaka okuli akiikirira abakyala e Nakasongola Margaret Komuhangi nowe  Bulamogi Kenneth Lubogo .

 

Wabula ye nampala wa gavumenti  Ruth Nankabirwa agamba kituufu wabaddewo okulwawo wabula nga bakola ekisoboka okutereeza buli kimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *