Amawulire

Gavumenti ereese amateeka ku nkungaana e Kasese

Gavumenti ereese amateeka ku nkungaana e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2019

No comments

Bya Rita Kemigisa

Ministry yebyobulamu evuddeyo okutangaaza, ku byenkungaana mu district ye Kasese, wakati mu bunkenke obuliwo, olwekirwadde kya Ebola.

Amawulire gayitinganye nti gavumenti eweze nekungaana mu bitunmdu bino, wabula omwogezi wa ministry yebybulamu Emmanuel Ainebyona, agambye nti tebaziweze naye balamise amateeka agagenda okugobererwa.

Agambye nti kuno kuliko abantu okubeera abegenderza okuli, okubaterwo ebifo webanabira engalo nebirala, ebigwa mu kkowa eryo mungeri yokwetangira.

Ekirwadde Kya Ebola ekyakatta abantu 2, atenga abalala abali mu 10 baabauwdde.

Ebola yakakasiddwa mu gwanga, oluvanyuma lw’omukazi munnansi wa DRC eyasala ensalo nabe naganda ze okudda mu Uganda, gyeyafumbirwa.

Abakafa kuliko omulenzi owemyaka 5 Brian Bwambale ne jajja we.