Amawulire

Gavumenti ejeemedde palamenti ku by’essimu

Ali Mivule

May 19th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti ekalambidde era n’ezimuula ekiragiro kya palamenti okwongezaayo nsalessale w’okuwandiisa layini z’essimu kale nga olwaleero webunazibira eyo mu ttumbi, essimu zonna ezitali mpandiise na ndaga Muntu zakujibwako.

Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde ewa minisita w’ebyamawulire Frank Tumwebaze kiraze nti essaawa mukaaga ez’ekiro wezikoonera essimu yonna etali mpandiise yakugibwako ku mpewo.

Wabula yo enkola ya Mobile money yakusigala ng’ekola nekumassimu agatali mawandiise okumala ekiseera okusobozesa abantu okugyako ssente zaabwe oba okuziweereza ku massimu amawandiise wabula nga bananyini massimu gano tebasobola ate kuteekako ssente.

Kati gavumenti eragidde akakiiko k’ebyempuliziganya okutegeeza kampuni zamasimu zonna okugoberere ekiragiro ekiriwo nga bwekiyimiridde.