Amawulire
Gavumenti egumizza bannauganda ku kibira kye Bugoma
Bya prossy Kisakye
Gavument egumiza bannauganda ku kibira kye Bugoma ekibadde kibeeralikiriza emitima nti kyandirugenda.
Okusinzira ku Ssenkulu w’ekitongole kya National Forestry Authority Tom Okello ategezeza nga musiga nsimbi eyali akayanira yiika 22 ku ttaka lye kibira kkooti bweyamuyimiriza takkirizibwa kubaako kyakolera ku ttaka lino okutuusa ng’omusango oguli mu kkooti gusaliddwa.
Ono mungeri yemu ategezeeza nga ne bibira ebirala mu ggwanga gavumentI bw’efuba okulaba nga bikuumibwa obutamalibwawo abantu naddala abagula ettaka ku bitundu by’e bibira bino