Amawulire

Gavumenti egulidde Omusinga ettaka yiika 5

Gavumenti egulidde Omusinga ettaka yiika 5

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Gavumenti eriko ettaka yiika 5 zeyaguze, eri Obusinga Bwa Rwenzururu e Kasese nga libalirirrwamu obukadde 150.

Bino webijidde ngobusinga, olwaleero bajaguza amattikira Gomusinga ag’omulundi ogwa 55.

Ku ttaka lino kitegezeddwa nti bagenda kutandikirawo okuzimbira Omusinga Charles Wesley Mumbere, amaka agomulembe.

Kattikiro wObusinga Joseph Kule Muranga akaksizza eri banaffe aba Daily Monitor nti ekitongole ekizimba mu magye gegwanga kyekigenda okuweebwa omulimu guno.

Wabula Muranga talaze ssente mmeka, polojekiti eno zegenda okuwemmenta.

Kinajjukirwa mu Novemba womwaka oguwedde Obusinga bataandika okusonda ssente, nga baategeeeza nga bwebetaaga obuwumbi 25 okuzaawo olubiri olwasigala ku ttaka m bulumbaganyi oobwaliwo mu 2016 omwafiira abantu abali mu 100.

Zaali ennaku zomwezi 26 mu Novemba wa 2016, amagye ga UPDF negalumba olubiri Lw’Omusinga nga kigambibwa nti balina obubinja bwabalwanyi nekigendererwa okuyekera egwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *