Amawulire

Gavumenti bagidizza essundiro lyamasanyalaze

Gavumenti bagidizza essundiro lyamasanyalaze

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Gavumenti yedizza esundiro lyamasanyalaze erya 50 MW e Namanve erya Thermal power plant okuva mu mikono gya Jacobsen Uganda Power plant Limited abalizimba era ababadde baliddukanya okumala emyaka 13.

Kino kyali mu ndagaano ezatukibwako wakati wa kampuni eno ne gavumenti ya Uganda.

Minisita wamasanyalaze nobugagga obwomu ttaka Ruth Nankabirwa agambye nti ligenda kwongera ku bungi bwamasanyalaze, era gaakuterekewa gakole mu biseera ebizibu.

Omuwandiisi owenakalakkalira mu minisitule Eng. Irene Batere alagidde aba Uganda Electricity Generation Company Limited (UEGCL) okuliddukanya obulungi, essundiro lino lisgale mu mbeera nnungi nga bweribawereddwa.

Bbo abakulembeze mu Namanve basabye gavumenti okugaziya ku makubo agali mu kitundu kyabwe, okubeera nenkulakulana gyebayinza okwenyumiririzaamu.