Amawulire

Gavt terina kyakukolera bbeeyi yámafuta ey’ekanamye

Gavt terina kyakukolera bbeeyi yámafuta ey’ekanamye

Ivan Ssenabulya

November 19th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisita omubeezi owa masanyalaze nobuggaga obwensibo, Okaasai Opolot avudeyo nategeeza nga gavumenti bwetalina kyesobola kukolawo ku bbeeyi ya mafuta eyekanamye mu ggwanga lino.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Opolot agambye nti okulinya kwa beeyi ya mafuta kwa nsi yonna so si Uganda era nga kino kivudde ku beeyi ya mafuta ga crude oil okuba wagulu.

Ono era ategezeza nti Uganda terina ngeri gyegenda kukendereza ku bakasitoma beeyi nakatiliza nti bwogerageranya námawanga amalala mafuta ga Uganda gali ku beeyi ya wansiko.

Ye omwogezi wa minisitule eno Solomon Muyita ategezeza nti gavt esobola kuyingirawo singa ebbeeyi ya mafuta eyita ku yagerekebwa okuva mu dipo.

Mu kiseera kino lita ya petulooli egula shs 3600.

Olunaku lweggulo amyuka sipiika wa palamenti yatadde minisitule ya masanyalaze nobuggaga obwensibo kunninga banyonyole ekivirideko ebbeeyi y’amafuta okulinya enyo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *