Amawulire

Gavt obutemu bwe Masaka ebutadde ku bannabyabufuzi

Gavt obutemu bwe Masaka ebutadde ku bannabyabufuzi

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ndaye Moses

Gavumenti obutemu bwebijjambiya obugenda mu maaso mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Masaka ku bannabyabufuzi.

Bino webigidde nga abantu abakunukiriza 30 bebakattibwa abebijjambiya.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, minisita avunanyizibwa kukulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi agambye nti byebakazuula biraga nti abatemu bébijjambiya basindikibwa bannabyabufuzi ne kigendererwa ekyokuleetawo okutya mu bannansi.

Mungeri yemu ategezeza nga gavt bwegenda okuliyirira abeganda zaabo abafiiriddwako ababwe obukadde 10 buli maka.

Mungeri yemu omukulembeze weggwanga YK Museveni alabudde abatemu bébijjambiya bano nti bakukwatibwa kuba tebasobola kwekweka bakuuma ddembe kaseera kanyi.

Bino abyogeredde ku kisaawe e Kololo mu kufulumya abasirikale abakuuma amakomera abagya.

Obutemu obwekikula kino bwaliwoko mu bitundu byobwagagavu bwe Masaka mu mwaka gwa 2017 ne 2018.