Amawulire

Gavt eyogedde byegenda okutekako omulaka mu Mbalirira ya 2022/23

Gavt eyogedde byegenda okutekako omulaka mu Mbalirira ya 2022/23

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Mu mbalirira yómwaka gwensimbi ogujja, Gavt essira elitadde kukya nfuga eri wansi wa mateeka, okulwanyisa enguzi nókunyweza ebyokwerinda.

Bino byogeddwa minisita owebyensimbi Matia Kasaija mu kusoma embalirira ye ggwanga eyomwaka gwensimbi 2022/23 ku kisaawe e kololo.

Omukolo gwetabidwako nómuk weggwanga YK M7, Ababaka ba palamenti, na bakwatibwako ensonga.

Agambye nti embalirira era egenda kutunulira nyo pulogulamu ya gavt eya parish Devt Model, okuteeka ensimbi mu byamafuta ne birala.

Minisita agambye nti mu kudabulula eggwanga eryakosebwa ne kirwadde kya gavt gavt ya kuvaayo ne ntekateka ezenjawulo ezirubirira okuggumiza ebyenfuna.

Embalirira eyobusse 48 yayisibwa palamenti omwezi oguwedde wansi womulamwa ogugamba nti “okwetanira amakolero ku lwenkulakulana, okutondawo emirimu, nokufuna obuggaga’’

Ababaka ba palamenti bangi balaga nti embalirira yomulundi guno erimu essuubi eri munnauganda na ddala mu kaseera kano akakatyabaga mu byenfuna.