Amawulire

Gavt evudeyo ku Mataba géKasese

Gavt evudeyo ku Mataba géKasese

Ivan Ssenabulya

August 18th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Gavumenti etegezezza nga bwerina entekateeka okunoga eddagala eryenkomeredde, eri ebibamba byamataba ebiva ku mugga Nyamwamba bul lwegubooga.

Eno wlaiwo nemigga emirala, egizze givaako amataba agafiriddemu abantu abawerako.

Emigga emiralala kuliko Dunguluha ne Mubuku, nga wetwogerera abantu okuva mu maka 20 babundabunda songa abantu 2 bebafiridde mu mataba agabaddewo ku lunnaku lwa Sunday.

Amataba gatawanyizza disitulikiti ye Kasese, okuva mu mwaka gwa 2012.

Minisita webibamba, ebigwa tebiraze nababundabunda Esther Anyakun Davinia agambye nti gavumenti eri mu ntekateeka okumulawo embeera eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *