Amawulire

Gavt esabye abakulu ba masomero ku Kaliculaamu empya

Gavt esabye abakulu ba masomero ku Kaliculaamu empya

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti esabye abakulu bamasomero okulaba nti bateeka munkola kaliculaamu empya nokutandika nábayizi abaseniya esooka

Minisitule evunanyizibwa ku byenjigiriza ne byemizannyo mu ggwanga yatongoza kaliculaamu eno mu mwezi ogwokubiri omwaka oguwedde ne kigendererwa okusomesa abayizi ebintu ebibagasa mu kifo kyokusoma omuwawa

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, the Dayirekita wekitongole kya gavt ekivunanyizbwa ku byensoma ki National Curriculum Development Center, Grace Baguma, agambye nti bafunye amawulire nti amasomero ebisomesebwa ebigya ebwabaweebwa babivaako dda

Wano wasabidde bakalondoozi ba masomero ku zidisitulikiti okulabula masomero mu bitundu byabwe balabe nti entekateeka eno etekebwa mu nkola