Amawulire

Gavt esabbiddwa  okuva kyókukola ennongosereza mu tteeka lye Ttaka

Gavt esabbiddwa okuva kyókukola ennongosereza mu tteeka lye Ttaka

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2021

No comments

Bya Magembe Ssabiiti,

Bakansala ku lukiiko lwa district ey’e Mubende basabye gavumenti yesonyiwe eby’okutigatiga etteeka ly’ettaka mweyagalira okukola ennongoosereza mu ttaka lya Mmayiro, nti esoosowaze ebyo ebizze bivaako abantu okugobaganyizibwa ku ttaka.

Mu kadde kano gavumenti eri mu ntekateeka ezokuleeta nnongoosereza mu tteeka lino, nga egamba kyekigenda okumalawo emivuyo egivuddeko abantu okugobaganyizibwanga ku ttaka naddala wano mu bitundu bya Buganda.

Bakansala e Mubende nga bakulembeddwamu akulira oludda oluwabula gavumenti ku lukiiko lwa district Ndagizhumana Stephen nekansala w’e Kibalinga Richard Nsenga, bawabudde gavumenti mu kifo ky’okuleeta ennongoosereza zino etunule mu bitongole byayo ebikuuma ddembe ebizze bikozesebwa abanene okubba ettaka, ne kkooti ezimala emyaka n’ebisiibo okusala emisango gyettaka

Bano era basabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nti lwakomawo okwogerako eri eggwanga ku nsonga za Covid-19, alowoze ne kukyokuggulawo enkiiko za zi districts kubanga obukulembeze obupya okuva lwebwalayizibwa eggwanga lyonna teriiyo kanso tezikyatuula ekintu ekikosa gavumenti ez’ebitundu.