Amawulire

Gavt erabudde ku butemu bwe Masaka bwandisasasnira ebitundu ebirala

Gavt erabudde ku butemu bwe Masaka bwandisasasnira ebitundu ebirala

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2021

No comments

Bya Malik Fahad,

Gavumenti erabudde nti obutali butebenkevu obuli mu bitundu bye Masaka bwandisasaanira mu bitundu ebirara ebye ggwanga nesaba abakulembeze be bitundu okugoberera ensonga eno.

Bino byogeddwa minisita avunanyizibwa kunsonga za maka gomukulembeze weggwanga Milly Babalanda wakati mu musomo ogwokubangula ababaka ba gavt e Masaka.

Ono agamba nti abatemu bebijjambiya balumba abantu mu kiro bagenderedde kugya gavt ku mulamwa ogwokukulakulanya abantu baayo nokulaba nti abantu betamwa gavt eno

Babalanda agamba nti embeera bweti era egoba bamusiga nsimbi okugya mu ggwanga.

Wano wasabidde abakulembeze mu byokwerinda okuziba emiwaatwa egiri mu kitongole ekikesi nokukwatagana na bantu okulwanyisa obumenyi bwa mateeka.