Amawulire

Gavt erabudde abalombe bé Kisiita

Gavt erabudde abalombe bé Kisiita

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti,

Gavumenti eragidde abantu abali mu birombe bya Zaabu e Kisiita mu district y’e Kassanda okuteekesa mu nkola ekiragiro kyeyabawa bave mu birombe mu mirembe nga omwezi gwa Museenene omwaka guno tegunnayita, awatali ekyo bagenda kweyambisa amateeka n’ekifuba okubasengula.

Gavumenti okuyita mu Minisitule y’eby’amasanyalaze n’obuggaga obwo mu ttaka eyagala kkampuni ya Kisiita Mining Company eyaweebwa layisinsi okuddukanya ebirombe by’e Kisiita okutandika okukiddukanya gavumenti okusobola okufunamu omusolo ne district ey’e Kassanda, ekigenda okuleka abantu abali mu 3000 nga basenguddwa.

RDC w’e Kassanda Phoebe Namulindwa agambye nti abantu bano baweereddwa ekiseera ekimala era wabaddewo okusomesebwa okumala, kati abanaagaana bagenda kukozesa amaanyi babajjeyo.

Omubaka omukyala owa district y’e Kassanda Flavia Nabagabe Kalule asabye gavumenti ette ku bigere mu kusengula abantu bano kubanga bonna abakolerayo bantu ba mukitundu, ate ne gavumenti wadde ebasindiikiriza, tennaba kulaga ngeri district eno ekyali empya gyegenda okufuna mu Gold avaayo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *