Amawulire

Gavt enenyezeddwa obutafa ku bantu abattibwa

Gavt enenyezeddwa obutafa ku bantu abattibwa

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti enenyezeddwa olwokutwala embeera ya bantu abafa mu ggwanga lino ngéyolubalaato naddala eggwanga bweryali lyolekera okulonda kwabonna, newekwagwa.

Okusinzira ku kibiina omwegatira bannamateeka ki Network of Public Interest Lawyers (NETPIL) embeera bweti erese abamenyyi ba mateeka tebwatibwako ekibavirako okusigala nga batyoboola eddembe lya bantu okuba abalamu.

Bino bifulumidde mu alipoota efulumiziddwa olwaleero ekibiina kino wamu naba Makerere University school of Law.

Bwabadde afulumya lipoota eno etuumiddwa okulonda kwa bonna okwa 2021 mu Uganda: ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu, nebyavaamu, omukulu mu kunonyereza kuno, James Nkuubi agambye nti gavt ne bannauganda kati ebyokufa kwa bantu babiraba nga ekintu ekyabulijjo ne batafaayo kunonyereza bakyamu bakangavulwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *