Amawulire

Gavt ekwataganye ne Buganda okutumbula enkola ye Emyooga

Gavt ekwataganye ne Buganda okutumbula enkola ye Emyooga

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti ekwataganye nóbwakabaka bwa Buganda okutumbula enteekateeka yaayo eyébyenkulakulana emanyiddwanga nga eye “Emyooga’’ nekigendererwa ekyokugusa ekirubirirwa kyayo obulungi.

Bwabadde akiise e Mbuga olwaleero, Minisita avunanyizibwa ku microfinance Haruna Kyeyune Kasolo, ategezeza nti gavt eyagala eokukozesa ettutumu lya bakulembeze mu Buganda okuyita mu SACCO za Buganda okutumbula enkola ye emyoooga ku lwenkulakulana ya bantu.

Mu nkolagana eno gavt egenda kuwa obwakabaka bwa Buganda ensimbi ezitayatukiriziddwa zigabanyizibwe mu bibiina bya SACCO ebiri mu Buganda ku magoba amatono.

Ye kamala byonna wa buganda Charles Peter Mayiga, ayaniriza enkolagana eno nagamba nti Obuganda bwetegefu okukwatagana ne gavt eya wakati mu kutumbula pulogulamu zaayo ezilubiririra okuleeta enkyukakyuka mu bulamu bwa bantu

Wabula alabudde bannauganda okukomya okutabikiriza ebyobufuzi mu pulogulamu za gavt eze byenkulakulana bwebaba bakuganyulwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *