Amawulire

Gavt efulumiza ensimbi ezékitundu ekyókubiri

Gavt efulumiza ensimbi ezékitundu ekyókubiri

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Gavt efulumiza ensimbi obusse 5.8 ezigenda okudukanya emirimu mu kitundu ekyókubiri ekyomwaka gwe byensimbi 2021/22.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, omuteesiteesi omukulu owa minisitule eno, Ramathan Ggoobi agambye nti ensimbi ezifulumizibwa zikola ebitundu 25.5% ku mbalirira ye ggwanga eyóbusse 44.7

Goobi anyonyodde nti ku ensimbi ezifulumizidwa 294bn zakugenda mu byobulamu nókukuuma bannansi ate ebyobulimi na makolero biweereddwa 184bn

Ebitongole birala ebiweeredwa ensimbi kuliko ekya URA, ekitongole ekiramuzi, ne palamenti

Goobi era alagidde ababalirizi bébitabo okulaba nti basasula emisaala, ensako nóbusiimo bwa bakozi ba gavt ngennaku zomwezi 28 buli mwezi