Amawulire

Fred Lumbuye agombedwamu obwala, Minisita agamba kyamugwanidde

Fred Lumbuye agombedwamu obwala, Minisita agamba kyamugwanidde

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Minisita omubeezi owénsonga zámawanga amalala Okello Oryem, agamba Omwogezi enyo ow’okumikutu egy’omutimbagano Fred Lumbuye kimugyanidde okukwatibwa.

Kino kidiridde amawulire okuyitingana ku mikutu egyomutimbagano nti Lumbuye nga abadde avumirira nyo agvt yawambiddwa nákwatibwa mu ggwanga lya Butuluki olwebigambo ebikolokota gavt byabadde ayogera olutatadde.

Ono kigambibwa nti yeyabika okufa kw’omukulembeze weggwanga ku social media, Museveni amale alagire abakuuma ddembe okuwenja bonna abamubika bakwatibwe

Kati mukwogerako ne bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, Okello Oryem ategezeza nti omuntu yenna amenya amateeka aba alina okugombwamu obwala akangavulwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *