Amawulire

FDC ssiyakusimbawo muntu ku bwa loodimeeya

Ali Mivule

March 10th, 2014

No comments

Muntu

Oluvanyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okulangirira nga 17 omwezi ogujja nga olunaku lw’okujulizako ekifo kya Loodi Meeya, ab’ekibiina kya FDC bategezezza nga bwebatagenda kusimbawo Muntu yenna.

Bano bagamba okulonda kuno kumenya mateeka era n’akakiiko k’ebyokulonda kandiyimirizza enteekateka eno mbagirawo okutuusa nga kooti esaze eggoye ku kwemulugunya kwa loodi meeya Lukwago okugobwa bakanSala  mu ofiisi.

Omwogezi wekibiina era nga y’akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti  Wafula Oguttu agamba bakussa ekitiibwa mu kusalawo kwa kooti okuzza Erias Lukwago ku bwa loodi meeya.

Mungeri yeemu ekibiina kino kironze John Kikonyogo nga omwogezi w’ekibiina.