Amawulire

FDC erangiridde Dennis Owani okubakwatira bendera mu kulonda kwe Omoro

FDC erangiridde Dennis Owani okubakwatira bendera mu kulonda kwe Omoro

Ivan Ssenabulya

April 29th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abekibiina kya FDC banjudde Dick Dennis Owani, okubakwatira bendera mu kudamu okulonda  okujuza ekifo ky’omubaka we Omoro county mu palamenti.

Pulezidenti wa FDC Eng Patrick Amuriat yayanjudde Owani, mu lukungaana lwa bannamwulire olwenjawulo olutudde ku kitebe e Najanankumbi mu Kampala.

Amuriat era alonze Okidi Ojara nga ssentebbe, okukulemberamu kakuyege wa Owani ku lw’ekibiina.

Agambye nti bagenda kutalaaga nnyumba ku nnyumba, nga banonya obuwagizi

Kinajjukirwa nti Owani era yavuganya ku kifo kyekimu mu kulonda kwa bonna okuweddemkubwannamunigina.

Kati agenda kuvuganya n’owa NRM Andrew Ojok, owa NUP Simon Toolit n’abalala.

Ekifo ky’omubaka we Omoro kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kwomubaka era eyali sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah.