Amawulire

FDC ekubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti

FDC ekubye ebituli mu kwogera kwa Pulezidenti

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kinyoomye okwogera kwomukulembeze weggwanga akiro ekiyise nga kigamba nti ebya Museveni okugamba bannauganda okutandika okukekereza tebikola nga ye wakozesa buwanana bwa nsimbi mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja.

Olunaku lweggulo bweyabadde ayogerako eri eggwanga ku miwendo gye bintu egyekanamye pulezidenti yagambye nti gavumenti tesobola kuwuliriza bagisaba kukendeeza oba okugyawo emisolo ku bintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo kuba kino kiba kyabulabe nyo eri eggwanga erikyakula, era yawadde bannauganda amagezi okutandika okukekereza nókuyiga okukozesa ekitono kye balinawo basobole okumalako ne mbeera eri mu ggwanga.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, omwogezi wa FDC Ssemuju Nganda, agambye nti mu kwogera kwa Museveni yabadde nga asaba bannauganda okunywa amazzi songa ye ali ku wayini yemiisa.

Anokodeyo abakozi 1,500 abali mu makage, abawi bamagezi 139 balina nga bonna basasulwa kunsimbi za muwi wa musolo.

Songa pulezidenti mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja yaweereddwa obuwumbi 140 za kugaba birabo mu basiimye, 3.4bn zakumutuusako ebikozesebwa mu byobulimi, 88bn teziragibwa mulimo gwzo, 70bn zakutambula munda mu ggwanga, nóbuwumbi 138 zakwebuuza kunsonga ezitali zimu.

Kati aba FDC begasse ku bantu abalala okusaba pulezidenti akendeeze kunsasaanya kitaase ku bannansi ababonaboona.