Amawulire

Faaza attiddwa e Gomba

Faaza attiddwa e Gomba

Ivan Ssenabulya

August 19th, 2021

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Poliisi mu disitulikiti ye Gomba etandise okunonyereza kungeri Faaza, gyeyatiddwamu kigambibwa mu ndoliito ezekuusa ku ttaka.

Omugenzi ye Rev Fr Joshephat Kasambula abadde atemera mu myaka 68, ngabadde muwereza ku kisomesa kya Rwamata Parish mu disitulikiti ye Kiboga mu Kiyinda-Mityana Diocese.

Kigambibwa nti waliwo abantu abaali bekomya ennyumba ye mu bukyamu ku kyalo Kikunyu, mu gombolola ye Kyegonza e Gomba, nga bateberezebwa nti bebamusse.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kiundu kya Katonga, Tumushabe Lydia omugenzi, Fr Kasambula bamutidde ku ttaka lye, akwungeezi akayise gyabadde agenze okulambula abakozi.

Wabula kitegezeddwa nti abadde amaze ebbanga nga tagenda mu kitundu kino.