Amawulire

Ey’efumbiza ew’omutemu bamutemyetemye

Ey’efumbiza ew’omutemu bamutemyetemye

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Agambibwa okuba nga yeefumbiza ow’omulenzi agambibwa okubeera mu kibinja ky’abebijambiya amwefuulidde n’amutema n’adduka.

Ruth Nantaba ow’emyaka 16 kati apooca na biwundu mu ddwaliro e Mulago nga kisubirwa nti omulenzi yamufumise nadduka, ngalowooza nti amuse, wabula Katond yazizza bibye.

Ono yagidwa e Busega oluvanyuma lwokutusibwako obuvune obwamanyi.

Nantaba kati yenna ajjudde ebiwundu ku mutwe, emikono, mu mugongo, ku nsingo n’awalala.

Agambye nti ebiwundu bino byamutuusiddwaako bba, Patrick Ssenoga oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’atiisatiisa okumuloopa mu bobuyinza ku bikolobero by’azze akola.

Kati omuwala ono asabye abebyokwerinda okunoonya bbaawe bamuvunaane.