Amawulire

Eyazimba nga talina pulaani gumumezze

Eyazimba nga talina pulaani gumumezze

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omusubuzi mu gombolola y’e Rubaga asingisiddwa omusango gw’okuzimba ekizimbe nga tekirina pulaani okuva mu kitongole kya KCCA.

Bukenya Geoffrey asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Beatrice Kainza amusomedde omusango n’agukkiriza.

Wabula oluvanyuma lw’okukiriza omusango omulamuzi amulagidde asasule engasi ya kkooti ya mitwalo makumi a bbiri bwaba alemereddwa yebake mu kkomera e Luzira okumala omwezi Mulamba.

OLudda oluwaabi okuva mu KCCA lugamba nti omusajja ono omusango yaguzza okuva mu mwezi gwa November 2018 okutuusa Kati.

Omusajja ono omusango yagudiza Rubaga ku Luguudo Weraga wano mu Kampala.