Amawulire

Eyayiira mukaziwe asidi asibiddwa emyaka 40.
Bya Ruth Anderah.
Mu kooti agavaayo galaga nga omulamuzi wa kooti enkulu bwaggalidde omusajja Kasimu Kakaire okumala myaka 40 nga ono alangibwa kudda ku mukaziwe n’amuyiira acid nga ali wamu n’omwanawe okukakana nga amuse.
Omusajja ono Kassim Kakaire okusibwa asoose kukkiriza nga bweyazza omusango, era nga yalagira abasajja babiri okuyiira mu kyalawe Josephine Namanda acid wamu nomwanawe.
Guno omusango gubadde mu maaso g’omulamuzi Anthony Ojok Oyuko.
Obujulizi obuleteddwa bulaga nti omusango guno kakaire yaguzza nga 24th/November 2014 wano ku nkulungo ye Naalya.