Amawulire
Eyawalampye ente waakuliwa ensimbi bukadde
Bya Abubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 25 alagiddwa okusasula akakdde 1 nekitundu, ngekibonerezo oluvanyuma lwokuwalampa ente.
Joseph Were ngs mutuuze ku kyualo Kimbaale mu gombolola ye Mutelere mu district ye Bugiri, asingisddwa omusango ogumuvunaniddwa mu kooti ye kyalo ebadde ekubirizibwa ssentebbe waakyo Paul Sande.
Ono kooti egamba nti ekizudde nga yasinda omukwano nente ya Moses Mukyanga, era omutuuze ku kyalo kyekimu.
Kati bamulabudde obutaddamu kwetaba mu kikolwa ekyo kubanga ssi kyabuntu.