Amawulire
Eyavuganya kubwa meeya bamukwatidde mu bubbi bwemmotoka
Bya Malikh Fahad
Poliisi e Masaka ekutte eyavuganya ku kifo kya meeya wekibuga kino, nga kigambibwa nti yetabye mu lukwe lwokubba emmotoka.
Willis Mbabazi Bamwesigye akwatiddwa ba mebga ba poliisi, nga kyadirirdde omu ku banatu okulumiriza nti yamupangisa mmotoka ye mubiseera bya kampeyini, wabula nategeeza nti bajimubbako.
Poliisi egamba nti okunonyereza kwabwe okusooka, kwebakoze kulaga nti, ono abaddenga agufudde muze okupangoisa mmotoka ate nazizayo wabula nazitunda.
Omwogezi wa poliisi mu mseregeta ga Uganda Muhammad Nsubuga agambye nti okumukwata kyadirirdde beyabadde aguzizza emmotoka okuyslawo okukebera ebijikwatako mu kitongole ekiwooza kyomusolo.
Mmotoka eyogerwako kika kya Toyota Premio namba UAS 510/S.