Amawulire

Eyatta omuyizi wa univasite bamusindise mu kooti

Eyatta omuyizi wa univasite bamusindise mu kooti

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusajja owemyaka 21 agambibwa okutta omuyizi wa university, nabba ne laptop saako essimu ye, bamusindise mu kooti enkulu tandike okuwozesebwa.

Omuvunaanwa ye Alex Kabahuma ngabadde mu maaso gomulamuzi wedaala erisooka kooti ya Alex Alule.

Okumusindika mu kooti enkulu kidiridde oludda oluwaabi okutegeeza ngokunonyereza bwekwawedde.

Kabahuma agenda kuwerennemba nomusango gwobutemu nobwa kkondo.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wanga 16 ne 17 March mu mwaka guno 2021 e Makerere ku Bombo road, omuvunanwa yatta Vincent Kaitali oluvanyuma nmutwalako ebibye okwali ensimbi enakulu emitwalo 5, laptop, TV nessimu eyomungalo.

Omulambo guno gwalabibwa maam womugenzi, eyali azze okulaba ku mwana we weyali aviira ngasoma.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *