Amawulire

Eyasobya kuwemyaka 11 bamusindise mu kooti enkulu

Eyasobya kuwemyaka 11 bamusindise mu kooti enkulu

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusajja agambibwa okubeera kaggwa ensonyi, bamusindise mu kkooti enkulu atandike okuwerenembe n’omusango gw’okusobya ku mwana omuwala ow’emyaka 11.

Omuvunaanwa kigambibwa omwana yamusobyako, nga banne balaba bwebaali bagenze okusenya enku.

Malinzi Patrick asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’edaala erisooka mu kkooti ento e Mukono mu maaso gomulamuzi Steven Waidhuba amusomedde omusango wabula natamukiriza kubaako kyanyega kubanga gwa naggomola ogulina okuwulirwa kooti enkulu yokka.

Malinzi omusango yaguzza nga 24 January 2021 ku kyalo Wabiyinja mu district ye Buikwe.

Kati omulamuzi alagidde nti ajira abeera ku alimanda okutuusa kkooti enkulu lwerimuyita atandike okuwoza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *