Amawulire

Eyasobya ku mwana wa mwanyina yetuze

Eyasobya ku mwana wa mwanyina yetuze

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omusajja abadde agambibwa okusobya ku mwana wa mwanyina, mu district ye Mayuge asazeewo okwetuga.

Omugenzi abadde aweza emyaka 19, mutuuze ku kyalo Lugolole B mu gombolola ye Baitambogwe, wabula bamusanze ku mu muti ku luzzi ngalengejja.

Ssentebbe we kyalo Moses Mukisa agambye nti ono mwanyina yasoose kumuwabira, nga bweyabadde atuzizza muwala we ku kijullo kya sitaani.

Kati poliisi ezze najjayo omulambo guno negutwalibwa mu gwanika okwongera okwekebejjebwa.