Amawulire

Eyasobya ku mwana asibiddwa emyaka 26

Eyasobya ku mwana asibiddwa emyaka 26

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejjulirwamu ekendezeza ekibonerezo ku muvubuka eyasingisibwa omusango gwokujula ebitanajja bweyakwata omwana owemyaka 2.

Eric Kwagala omulamuzi wa kkooti e masaka yasooka kumusalira myaka 43 agimale mu kkomera wabula ekibonerezo kino kikendezedwa okudda ku myaka 26 oluvanyuma lwokujjulira ensala yomulamuzi nti yamulamuza busungu bungi.

Omusango Kwagala yaguza nga April 8th 2013 e Masaka bweyasoberera omnwana owemyaka 2 namusobyako nga jjaajaawe agenze mu nnimiro

Mungeri yemu kkooti ejjulirwamu eremezaawo ekibonerezo ekyemyaka 25 ekyasalirwa ogusajja gusenduvutto eyakwata omwana wa muliranwawe owemyaka 7

Moses Ssemanda yaddukira mu kkooti ngawakanya ekibomnerezo ekyamuweebwa wabula abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu bategezeza nti ekibonerezo kimugwaana alina okukigumira.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusango yaguza nga July 22nd 2011 kukyalo Kyambogo mu disitulikiti ye Ssembabule district