Amawulire

Eyasobya ku mulirwana we avunaniddwa

Eyasobya ku mulirwana we avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusujja ow’emyaka 24 asindikidwa mu komera e Luzira  ku bigambibwa nti yatuusa obuliisa maanyi ku mulirwana we ow’emyaka 30.

Sam Mutabazi omukozi wa lejjaleja omutuuze we Kisasi Kisota yasimbidwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku kooti ya City Hall Valerian Tuhimbise atamuganyizza kubaako kyayogerwa olw’ensonga nti omusango gweyazza gwa nagomola.

Kati ono wakuleteebwa mu kooti nga 2 Sebutemba 2019 ng’oludda oluwaabi bwerumaliriza okunonyerezza okufuna obujjulirizi asindikibwe mu kooti enkulu.

Oludda oluwaabi lutegezezza nga Mutabazi omusango bweyaguzza nga 20 August 2019 e Kisasi Kisota zone.