Amawulire

Eyasobya ku kiggala bamusibye emyaka 18

Eyasobya ku kiggala bamusibye emyaka 18

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Dr Winfred Nabisinde aliko omukuumi gw’asindise mu kkomera yebakeyo emyaka 18, olw’okusobya ku mwana ow’emyaka 15.

Jorum Tumwekwase bamusingisizza omusango gwokujjula ebitanajja, nga kigambibwa nti omwana gweyasobyako yali kiggala.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa, lutegezzezza kooti nti omuvunanwa omusango yaguzza nga 1 mu Sebutemba wa 2018, ku ssomero lyba kiggala e Masaka.

Ono kigambibwa nyi yeyambisa obulemu bwomwanaono olwokuba tayogera, nga yali tasobola kukuba nduulu namuwalabanya ppaka mu nnyumba ye namugagambula obumuli.

Omulamuzi Nabisinde agambye nti abmuberedde wakisa ekibonerezo nakikakanya okudda ku myaka 18 kuva ku 20 olw’obutayonoona budde bwa kooti bweyakirizza omusango.