Amawulire
Eyasangiddwa ng’atunda emiyembe asibiddwa
Bya Ruth Anderah,Omukazi eyasangiddwa ng’atembeeya emiyembe asigisiddwa omusango era naweebwa ekibonerezo kya kusasula ngasi ya kkooti ya mitwalo kumi eza Uganda.
Omulamuzi Valerian Tuhimbise alagidde nti omukyala ono Beatrice Aunyu bwaba alemereddwa okusasula engasi y’emitwalo 10 yebake mu kkomera e Luzira okumala ennaku makumi 35.
Aunyu myaka 25 nga mutuuze w’eKamwokya asibiddwa oluvanyuma lwaye kenyini okukiriza omusango, wabula nasaba kkooti emukwatibwe ekisa emute ekitasobose.
Omusango yaguza nga May 31st 2019 ku paaka enkadde wano mu Kampala.