Amawulire

Eyasaddaaka mugandawe bumisindise Luzira

Ali Mivule

July 4th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margaret Mutonyi aliko omusajja gwasibye emyaka 30 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okusaddaka mukulu we afune obugagga.

Abdul Kawere owemyaka 19 omutuuze we Busukumu mu district ye Wakiso ngakola gwa lejjalejja ku kyalo yakiguddeko.

Oludda oluwaabi nga lukulebeddwamu Mallen Obizu, lutegezezza kooti nti Kawere  yasaddaka muganda we Ibra Mbalangu eyali aweze emyaka 24 nga 10/10/2015 bweyekobana ne mukulu we omulala Khalidah Ndidde n’omusawo w’ekinansi Abdul Ssenfuma.

Kooti ekitegddeko nti bano bafumita omugenzi Mbalangu ebisso mungeri yokweraguza ku mugga Lwajali ogusangibwa mu Division ye Goma mu district ye Mukono.

Bwabadde awa esala ye omulamuzi Mutonyi agambye nti ekikolwa kyokutta muganda we  okufuna obugagga kyabwelaguze, kyabwa sitani era obutemu.

Gyebuvuddeko ye mukulu we Ndidde kooti yamusalira emyaka 20 oluvanyuma lw’okuvayo nakiriza omusango songa ye omusawo wekinnnasi Ssenfuma yesula mu mmotoka nafa ku lunaku lwebakwatibwa poliisi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *