Amawulire

Eyali maneja wa Cranes Chris Mubiru akwatiddwa

Ali Mivule

December 16th, 2013

No comments

 

     Chris Mubiru                                          

Poliisi ekutte eyaliko maneja wa tiimu ya Cranes  Chris Mubiru.

Chris Mubiru akwatiddwa ku bigambibwa nti yeetaba mu bikolwa by’okusiyaga abavubuka abato.

Poliisi ebadde yayisa ekiragiro ekikwata Mubiru oluvanyuma lw’okudduka mu ggwanga.

Omwogezi wa poliisi mu uganda,  Judith Nabakooba agamba nti ono agenda kukunyizibwa ku butambi obwalabikira mu mawulire ng’omukulu ono yeberese ku baana.

Poliisi era asabye omuntu yenna alinaky’amanyi ku misango egivunaanibwa Mubiru okugiyambako mu kunonyereza kw’etandise.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *