Amawulire

Eyakubye amasasi abantu mukwate

Ali Mivule

October 7th, 2013

No comments

ssenkumbi

Poliisi  mu Kampala emaze n’ekwata omusajja , agambibwa okukuba amasasi mu bantu ku baala eya Top bar.

Akwatidwa ategerekesse nga Deogratius Ilukol  nga ono  mukozi mu kkampuni  eya Hash security era ng’ono y’abadde akulira ekitongole ekikuuma eby’okulwanyisa

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emirirano  Ibin Ssenkumbi agamba  nti okunonyereza kulaga nga Ilukol  bweyafunye obutakkaanaya okuviira ddala ku muwala gweyaleese mu bbaala okumuwaamu,nga ono yamaze n’agaana okufuluma naye , ekyamujje mu mbeera nakuba amasasai mu bantu.

Wetwogererera nga abadde akulira ebbaala eno naye ali mu kkomera, nga ono agenda kuvunaanwa gwabulagajjavu.