Amawulire

Express FC bajirangiridde ku buwanguzi

Express FC bajirangiridde ku buwanguzi

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga, Federation of Uganda Football Associations (FUFA) balangiridde tiimu ya Express FC ku bunwaguzi nga ba nantameggwa ba liigi mu sizoni eno eyo’mwaka 2020/21.

Kino kyadiridde gavumenti okulangirira omuggalo gwa COVID-19, omwajidde ebiragiro ebyakosezza nebyemizannyo.

FUFA esinzidde mu nnyingo eye 18 mu mateeka agafuga omuzannyo, ssinga liigi ebeera ezanyiddwa 75% nga waliwo akaseera akazibu akayinza okwetagisa okujisazaamu ali waggulu wekimeeza uyaweebwa ekikoppoa.

Express FC yawangulidde ku bonero 58, URA FC ebadde mu kifo kyakubiri n’obubinero 57 atenga Vipers SC bamalidde mu kifo kyakusaatu n’obubnero 56.

Tiimu ezasaliddwako okudda mu kibinja kya liigi ekyokubiri kuliko, Kyetume FC, MYDA ne Kitara FC nga bagenda kuzanyira mu FUFA Big League.

Kati Express ne URA bebagenda okukirirra egwanga mu mpaka za CAF Champions League.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *