Amawulire
Executive ya SC Villa bangyongedde ekisanja
Bya Ritah Kemigisa
Abaddukanya tiimu ya SC Villa oba Trustees, bongedde ekisanja eri, olukiiko olwa Executive okujira nga bakulembera emyezi 3.
Mu kiwandiiko ekivudde ewssentebbe wolukiiko olwabammemba ba Villa bano bagenda kukulembera nga bwebatekateeka tiimu olwa liigi egenda okutandika nga 15 October.
Bino webijidde nga bano baalagiddwa okuddamu okutegeka okulonda, oluvanyuma lwa kooti enkulu okuyimiriza okulonda okwaliwo nga 28 August.
Brenda Kawuma yawakanya okulonda kuno, ngagamba nti kwalimu ebirumira era ebimenya amateeka.
Mu kiwandiiko kino olukiiko olwa congress lwakutuula mu nnaku 14 era ba memba ba Villa bonna balagiddwa okwewandiisa okusobola okwetaba mu lukiiko luno.