Amawulire

Etteeka ekambwe lyeralikirizza bannamawulire

Ali Mivule

April 7th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakolokose palamenti Olw’okuyisa etteeka eriwa minisita obuyinza okukola enongosereza zonna mu mateeka agafuga eby’amawulire awatali kwebuuza ku palamenti.

Omukwanaganya w’ekibiina ekilwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Network Patrick Tumwiine agamba tebawagira kino kubanga kati abaamawulire babataddeko olukomera mu kukola emirimu gyabwe.

Agamba gavumenti yandileese mateeka agayamba bannamawulire okukola obulungi emirimu gyabwe mukifo ky’okubateekako amateeka agabalemesa okukola obulungi egyabwe.

Agamba nti bbo nba abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bakwetegereza etteeka lino bwelina ssiddungamu balisimbire ekkuuli.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *