Amawulire

Essomero lya Kibuli girls High school liggaddwa

Ali Mivule

December 13th, 2013

No comments

Kibuli sch

Essomero lya Kibuli girls high school liggaddwa

Kiddiridde abakulira essomero lino okwewola obukadde lunaana( 800m) nezibalema okusasula.

Ensimbi zino baziggya mu banka ya Gold Trust

Poliisi ng’ekulembeddwaamu akulira poliisi ya CPS, James Ruhwez asoose kwogerako eri abayizi n’ebasaba okufuluma essomero olwo n’eriggala.

Omwogezi wa banka eno, Aisha Alibhai agamba nti basooka kutuula na bannanyini ssomero lino kyokka nebalema okutuusa lwebabatwala mu kkooti n’ebalagire basasule era nebibalema.

BBo abayizi balagiddwa okudda ewaka okutuusa ng’abakulira essomero basasudde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *