Amawulire

Entiisa e Jinja -abafumbo bazikuddwa muntaana

Entiisa e Jinja -abafumbo bazikuddwa muntaana

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abatuuze ku kyalo Bumwena mu disitulikiti yé Jinja bakeredde mu ntiisa bwebagudde kuntaana za bafumbo ababiri ngémirambo gyabwe gyagibwamu.

Ssentebe wa LC1 Muhammed Egesa, agambye nti abantu abatanaba kutegerekeka basimye entaana ya Mpoya Isabirye ne yamukyalawe ne bakuliita ne mirambo abafa emyaka kati 30 egiyisewo.

Egesa agambye nti bagezezako okunonya emirambo egibbiddwa naye gikyabuze naye nga batebereza okuba nti abasawo abekinnansi okuba nti bebenyigidde mu kikolwa kino.

Ono agamba nti ensonga bagitegezeza ku poliisi.