Amawulire

Entiisa e Bugiri- abatuuze bagudde ku mulambo

Entiisa e Bugiri- abatuuze bagudde ku mulambo

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2022

No comments

Bya Kirunda Abubaker,

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Buwole mu Bugiri Northern Division, bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gulengejja okumpi ne woteeri.

Bino bibadde ku Sonai Hotel, nga tekinaba kutegerekeka kiki ekyamutuseeko.

Ssentebbe wa LC 111, nga ye Sande Mukoba agambye nti omugenzi tamanyikiddwa bimukwatako, naye basubira bamutidde walala omulambo nebaguleeta nebaguwanika okumpi nakaduuka akalinaanye woteeri.

Poliisi eyitiddwa nebajjawo omulambo negutwalibwa mu gwanika lyeddwaliro e Bugiri, okwongera okujanajabibwa.