Amawulire

Entekateeka z’okudabiriza ekisaawe kyennyonyi ekye Gulu zikyagenda mu maaso

Entekateeka z’okudabiriza ekisaawe kyennyonyi ekye Gulu zikyagenda mu maaso

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti ekakasizza nti entekateeka zikyagenda mu maaso, okudabiriza ekisaawe kyennyonyi ekye Gulu okukizza ku mutindo gwensi yonna.

Kino kyadiridde okwemulugunya ku kasoobo engeri enytekateka zino, bwezikwatiddwa, atenga kwo okudabiriza ekisaawe kye Kabale kwo kuegnda bukwakku.

Bweyabadde ayanukula ku kwemulugunya okwaleteddwa ababaka ku nsonga eno, minisita omubeezi owebyentambula Musa Ecweru yagambye nti ekisaawe kye Gulu kyatongozebwa ngekifo abantu webafulumira nokuyira egwanga.

Agambye nti babaga entekateka enagobererwa okukidabiriza, okukizza ku mutindo.

Agambye nti bali mu ntekateeka okunoonya ssente, obukadde bwa $ 55 ezetagibwa okutereeza ekisaawe kino.